Zephaniah 1:14-16

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14 aOlunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 bOlunaku olwo lunaku lwa busungu,
lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 colunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
ku bibuga ebiriko ebigo
n’eri eminaala emigulumivu.
Copyright information for LugEEEE